Malachi 1:14

14 a“Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”

Copyright information for LugEEEE